Psalms 136

1 aMwebaze Mukama kubanga mulungi,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 bMwebaze Katonda wa bakatonda bonna,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
3Mwebaze Mukama w’abafuzi,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

4 cOyo yekka akola ebyamagero ebikulu,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
5 dOyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
6 eOyo eyabamba ensi ku mazzi,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
7 fOyo eyakola ebyaka ebinene,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
8 gEnjuba yagikola okufuganga emisana,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
9Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

10 hOyo eyatta ababereberye b’Abamisiri,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
11 iN’aggya Isirayiri mu Misiri,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
12 jYabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola;

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

13 kOyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
14 lN’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
15 mNaye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu;

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

16 nOyo eyakulembera abantu be mu ddungu,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

17 oYe yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
18 pN’atta bakabaka ab’amaanyi,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
19 qYe yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
20Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
21 rN’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
22Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

23 sOyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
24 tN’atuwonya abalabe baffe,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
25 uOyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

26Kale mwebaze Katonda w’eggulu,

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Copyright information for LugEEEE